
Olutalo lubalusewo wakati w’omuyimbi w’ennyimba z’eddini era omubaka omukyala owe Buikwe Judith Babirye n’omukyala omulala era mu kiseera kino balwanira “Smart Wire” y’omubaka wa Palamenti.
Kigambibwa Judith Babirye ali mu mukwano n’omubaka w’e Buikwe South Ssebulime Musoke Paul era baludde nga baagalana.
Mungeri y’emu mbu Judith Babirye ne Ssebulime Musoke Paul batekateeka okwanjula n’embaga mu nkukutu era mbu kaadi zagabiddwa.
Mu kiseera kino waliwo omukyala ategerekese nga Lukia Ntale Nalongo avuddeyo mu busungu era alabudde omubaka Judith Babirye okwesonyiwa bba.
Ntale Nalongo agamba nti alina abaana basatu (3) era tageenda kukiriza mukyala yenna kutwala musajja we.
https://www.youtube.com/watch?v=5cEL6CdFjGQ