
Abavubuka mu Uganda abakola emirimu egyenjawulo omuli abayimbi, bannakatemba, bannamawulire, bannamateeka, abasuubuzi n’abamu ku babaka ba Palamenti, bakangudde ku ddoboozi nga basaba omusolo ogwatongozeddwa ku mikutu migata bantu (Social media) okugibwawo.
Abayimbi okuli Apass, Dr. Hilderman, Spice Diana n’abalala ne banakatemba okuli Patrick Idringi Salvado, basinzidde ku Hotel Africana mu Kampala okuwanda omuliro era bagamba nti omusolo ku Face Book, Twitter, Instagram, WhatsApp n’emikutu emirala gigendereddwamu kunyigiriza bavubuka era tebayinza kubikiriza.
Omuyimbi Apass agamba nti abavubuka bangi nnyo abasobodde okukozesa yintanenti okunoonyezaako akatale k’ebyamaguzi byabwe n’okufunirako emirimu ate buli lunnaku batekeddwa okugula “Data” ekiraga nti buli lunnaku balina okuwa omusolo.

Ate omubaka w’e Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine agambye nti Gavumenti erina okuvaayo ku nsonga y’omusolo ku Social Media obutasukka Lwakuna nga 5, July, 2018 kuba singa tevaayo, bagenda kowoola abavubuka mu ggwanga lyona mu kwekalakaasa okw’emirembe okusinga okunyigirizibwa.
Olunnaku olw’eggulo, minisita omubeezi ow’ebyensimbi, David Bahati yagambye nti Gavumenti yetaaga ensimbi okutambuza emirimu omuli okunyweza ebyokwerinda, okuzimba enguudo, amalwaliro, amassomero era y’emu ku nsonga lwaki batadde omusolo ku Social Media.