Bebe Cool
Bebe Cool

Omuyimbi Bebe Cool atabukidde abayimbi abavuddeyo okuwakanya omusolo ogwateekeddwa ku Social Media ogwa shs 200 buli lunnaku.

Gavumenti yalangirira omusolo ogwo eri abantu bonna abagala okweyambisa Face Book, Twitter, WhatsApp, Instagram, Skype n’emikutu emirala okusobola okufuna ssente okutambuza eggwanga omuli okuzimba amalwaliro, amassomero, okunyweza ebyokwerinda n’ensonga endala era yasuubira okusolooza omusolo ogusukka mu buwuumbi 270.

  Bobi Wine

Bobi Wine

Wabula abayimbi nga bakulembeddwamu omubaka w’e Kyadondo East Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine, Dr. Hilderman, Alexander Bagonza (A Pass) n’abalala bavaayo okuwakanya omusolo gwo kuba gugenda kulemesa abantu bangi okutambuza emirimu gyabwe omuli abayizi ku yinivaasite ezenjawulo abeyambisa emitimbagano gya yintanenti okunoonyereza, abantu abalanga ebintu byabwe n’okusingira ddala abavubuka abateteenkanya obulamu.

Bobi Wine ne banne mu kwekalakaasa
Bobi Wine ne banne mu kwekalakaasa

Ku nsonga eyo, Bebe agamba ababaka ba Palamenti bakola nsobi nnyo okuyisa omusolo gwo ogwa shs 200 buli lunnaku nga bannayuganda tebasomeseddwa wadde Gavumenti yetaaga ssente okutambuza eggwanga.

Omuyimbi Bebe Cool bwe yabadde ku BBS TV olunnaku olw’eggulo yagambye nti abayimbi bonna abawakanya omusolo bye bakola byakataala era ye tayinza kubyetabamu.