Kyaddaki omubaka w’e Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine ayanukudde muyimbi munne Bebe Cool era abikudde ebyama ku nsonga ya ssente.

Okuva sabiti ewedde, Bebe Cool abadde alumbagana Bobi era yamuyita kiyenje olw’okuvaayo mu lujjudde okuwakanya omusolo ogwa shs 200 buli lunnaku ogwatekebwa ku Social Media okuli Face Book, Twitter, Instagram, WhatsApp n’emikutu emirala n’ogwa shs 1 ku buli ku 100 ku Mobile Money eri abantu bonna abagala okusindika n’okugyayo ssente.

Zuena
Zuena

Bobi Wine abadde yebalamye okumwanukula ekigambo kyona kyoka bwe yabadde ku kivvulu ekimu, Bobi yagambye nti tayinza kwonoona budde bwe ku bantu abafuna ssente okuva eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

“Omusajja bamukuba amasasi mu kugulu, nasaba Mukulu Museveni ssente okugenda mu America okufuna obujanjabi kyoka olwafuna ssente, mukyala we Zuena Kirema ng’atandika kukola Ceeki” bwatyo Bobi Wine bwe yasobodde okwanukula Bebe, ekyawadde abantu bonna essannyu.

https://www.youtube.com/watch?v=RL2Pm2uEasM