Zuena
Zuena

Kyaddaki mukyala w’omuyimbi Bebe Cool, Zuena Kirema awakanyiza ebigambibwa nti yali abaddeko mu laavu n’omugenzi Moses Nakintije Ssekibogo eyali amanyikiddwa nga Mowzey Radio.

Zuena agamba nti bba (Bebe Cool) okulwanagana ne Radio nga bafunye obutakaanya, kyawaliriza omugenzi Radio ne munne Weasel okuyimba oluyimba lwa Zuena okusobola okulumya Bebe Cool kuba bali bakimanyi bulungi nti ayagala nnyo mukyala we (Zuena).

 Bebe Cool ne Zuena mu laavu

Bebe Cool ne Zuena mu laavu

Mungeri y’emu agambye nti Radio ne Weasel baafulumya oluyimba lwa Zuena nga ye yali tabalabangako era bba (Bebe Cool) yeyasooka okumulaga Radio.

Agamba wadde Radio ne Weasel bamuyimbako, bakikola kunyiza Bebe era tayagalangako Radio wadde okumwegomba.

Mowzey Radio
Mowzey Radio

Kinnajjukirwa nti Radio yafa nga 1, Febwali, 2018 ku Case Medical Centre, Kampala oluvanyuma lw’okukubwa ku bbaala ya De Bar Entebbe ne bamwasa omutwe.

https://www.youtube.com/watch?v=Jd86818L1ls

https://www.youtube.com/watch?v=eba_ICJMw4c