
Abatuuze b’e Kisalosalo zone mu ggoombolola y’e Kawempe mu disitulikiti y’e Wakiso bawunikiridde, omupangisa eyakazibwaako erya Maama Saloon Namusoke bwasangiddwa lubona ng’asera ku lumbe lwa mutuuze munaabwe abadde amanyikiddwa nga Mubiru Makanika eyafudde olunakku olw’eggulo.
Omukyala bageenze okumukwata nga kigambibwa nti aliko omwana w’omu ku batuuze amanyikiddwa nga Rose Nansubuga, gwe yasazeeko enviiri emisana kyokka ate ekiro yasangibwa ng’ali bukunya.
Yakwattiddwa ne bamukuba emiggo n’okumusiba emiguwa ng’abatuuze bamusindikiriza okuyimba ennyimba z’eddini kuba abadde yeyita mulokole ku kitundu kyabwe.
Omukyala atwaliddwa eri ssentebbe w’ekyalo kyokka asobodde okwesimatula n’aduuka.
Wabula Wiliiama Kisiriko nanyini Nju omukyala omusezi kwabadde asula agambye nti tagenda kuddamu kumukiriza kuyingira mu nju ze.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano, Luke Owoyesigire avumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo kyoka akakasiza nti Poliisi etandiise okunoonyereza.
Vidiyo y’omusezi