Omugagga Bryan White (Brian Kirumira) alemeddeko nti omusirikale ategerekeseko nga Captain Alex alina okumuwa ssente ze era tagenda kukiriza kufirwa.
Kinnajjukirwa nti Bryan White yagula emmotoka ekika kya Range Rover Brabas ku doola za America 260,000 ezikunuukiriza mu kawumbi mu April wa 2018, nasasulako emitwalo 10 egya ddoola era sabiti ewedde emmotoka yasikiddwa Poliisi nga beyambisa emmotoka ya kasiringi ne bagitwala ku Poliisi y’e Kabalagala.
Wabula Bryan White agamba nti wadde ssente zatwalibwa n’emmotoka ne bagisika alina okulwana okomyawo ssente ze emitwalo 10 egya ddoola ze yasasulako.

Agamba nti wadde batandiise okumutisatiisa ne famire ye, tagenda kupowa

https://www.youtube.com/watch?v=cF2iGwE5lEc