
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga lino Prof Gilbert Balibaseka Bukenya alabudde nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yali musajja ayagalwa ennyo abantu olw’enneeyisa ye kyoka ebintu byongedde okumwononekera.
Bukenya agamba nti Gavumenti ya Museveni abantu bangi nnyo batiddwa n’amasasi ekiraga nti abannansi beyongedde okwekyawa.

Ku nsonga z’okutulugunya abantu n’okusingira ddala bannabyabufuzi, Bukenya ayogedde ku nsonga z’omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Agamba nti okutulugunya omuntu yenna kimwongera maannyi n’obuganzi era Pulezidenti Museveni alina okwegendereza ennyo Bobi Wine kuba ebimukoleddwako, abantu bongedde okumwagala.
https://www.youtube.com/watch?v=GBjJEv3pzh0