
Enkya ya leero amyuka sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah alambuddeko omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine mu kkomera e Makindye.
Bobi Wine ali ku Limanda okutuusa nga 23, August, 2018 ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu.

Bukya akwatibwa okuva mu disitulikiti y’e Arua, ekifaananyi kya Bobi Wine kibadde tekirabwangako eri omuntu yenna okuleka famire, bannamateeka be n’omusawo wa famire.
Wadde Bobi alumizibwa, tufunye ekifaananyi kye ng’ali ne Jacob Oulanyah ng’afunye ku kamwenyumwenyu