
Omuyimbi Desire Luzinda ayongedde okulaga nti alina talenti era byakola bitabangula waaya z’abasajja bangi mu ggwanga lino.

Luzinda y’omu ku bakyala abasobodde okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Ekitone, Ebyama, Lwaki Wekoza, Kale, Nyumirwa Nyo, Anything for You, Naye Nga Lwaki n’endala era zimufudde omuyimbi owenjawulo mu ggwanga lino.

Wabula asobodde okuteeka vidiyo ku mukutu gwe ogwa Face Book ng’ali ne mikwano gwe, era Desire akokonyeza abasajja abamwesunga, ekiwaliriza bangi ku bantu be okutegeza nti bbo bamwesunga nnyo era bamwegomba.

