
Kyaddaki Gen Kale Kayihura asimbiddwa mu kkooti y’amaggye e Makindy enkya ya leero, ebadde ekubirizibwa Ssentebbe waayo Lieutenant General Andrew Gutti era aguddwako emisango egyenjawulo.
Egimu ku misango egimuguddwako egiteeberezebwa nti yagizza wakati wa 2010 ne 2018, mwe muli okukozesa obubi woofiisi ye n’awa abantu baabulijjo emmundu omuli akababinja ka Bodaboda 2010 nga bakulembeddwamu Abdalla Kitatta, okulemwa okunnyonnyola ekyamuteesaawo ebitongole by’okwerinda eby’enjawulo omuli Flying Squad, Crime Intelligence n’ebitongole ebirala n’okuzzaayo bannansi ba Rwanda abadduukiranga mu Uganda okufuna obubudamu mu kiseera ng’addumira Poliisi mu ggwanga lino kyoka emisango gyonna agyegaanye.

Wabula bannamateeka ba Kayihura abali 7 nga bakulembeddwamu Peter Kabatsi, bakulembeddwaamu Peter Kabatsi basabye omulamuzi akkirize Kayihura okweyimirirwa oluvannyuma lw’okumala ekiseera nga’li mu kkomera ly’Amagye e Makindye nga taguddwako musango gwona.
Ssentebbe Lt Gen Gutti, abasabye okuteekayo okusaba kwabwe mu buwandiike era alangiridde nga 28, August, 2018, okusalawo ku nsonga y’okweyimirira.

Gwo omusango gwongezeddwayo okutuusa nga 4, September, 2018 nga kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maj. Raphael Mugisha okutegeza nti bakyanonyereza.
Gen Kale Kayihura aziddwayo ku Limanda mu kkomera ly’amaggye e Makindye wakati mu byokwerinda.
https://www.youtube.com/watch?v=uIYSfyhzYbg