
Omuyimbi Roden Y Kabaako y’omu ku bayimbi mu Uganda abalina talenti y’okukyamusa abantu ku siteegi kuba ayimbisa maanyi era olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga mu Zzina Sosh ku Kyadondo Rugby Grounds, yawuniikiriza abadigize.

Kabaako yasobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo omuli Number Emu, Sitani tonkema n’endala era yasobodde okugyamu essati nakyamula abantu.

Ekivvulu we kyagweredde ng’abadigize bakiriza nti Kabaako, Gravity Omutujju, Fik Fameica, Spice Diana n’abalala bakoze nnyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba.