
Kyaddaki omuyimbi Fik Fameica ayingizaawo oluyimba olupya olutumiddwa “Tonsukuma”.
Oluyimba Tonsukuma lwa mukwano nga yeegayirira omukyala okumwagala kuba buli kyakola omutima gwe gumutuma.

Mungeri y’emu yebuuza ebizigo omukyala gwayimbako byakozesa kuba asukkiridde okunyirira ku bakyala abalala.

Oluyimba Tonsukuma, kabonero akalaga nti Fik ayongedde okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba kuba ennyimba zeyongedde omuli Gwe Abisobola, Property, Kachima, Byenyenya, Mafia, Nze Nkuba, Kutama n’endala, ezimufudde ow’ettutumu mu ggwanga lino.