Omubaka we Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu ( Bobi Wine) avuluzze ebigambibwa nti omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni atekateeka mutabani we Maj Gen Muhoozi Kainerugaba okudda mu bigere bye.

Bobi Wine agamba nti ebigendererwa bye ne bannayuganda bisinga ebya Muhoozi ng’omuntu era tebayinza kukiriza muntu yenna kwefuga ggwanga lyabwe.

Ambasadda Katende ne Bobi Wine
Ambasadda Katende ne Bobi Wine

Okubyogera, abadde ku Voice of America mu pulogulamu Straight Talk Africa ekubirizibwa Shaka Ssali ekiro ekikeseza olwaleero ku Lwokuna.

Ku ttiivi, Bobi Wine abaddeko ne Ambasadda Sebujja Katende owa Uganda mu America era bogedde ku nsonga ezenjawulo.

Shaka Ssali
Shaka Ssali

Bobi Wine avumiridde ekya Gavumenti okutulugunya bannansi n’okusingira ddala ku ludda oluvuganya kyoka Ambasadda Katende awakanyiza ebigambibwa nti Gavumenti esukkiridde okutulugunya abantu.

Ebisingawo bisange mu vidiyo

https://www.youtube.com/watch?v=IST7CX4tV3k