
Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde bannayuganda bonna abagala obuyinza okudda mu bigere bye, okweyambisa amakubo amatuufu.
Museveni agamba nti omuntu yenna okulembera eggwanga ateekeddwa okwesimbawo, akalulu ne kakubwa, bannansi ne basalawo agwanidde okulembera eggwanga lyabwe nga basinzira ku birowoozo (Manifesto) bya buli muntu avuganyiza.

Agamba nti NRM yawangula okulonda kwa Pulezidenti nga bannansi bagiwadde obuwagizi era tebetaaga muntu yenna kubakwasizaako kulembera ggwanga kuba balina abantu abeetagisa.
Pulezidenti Museveni bw’abadde anyonyola eggwanga ku nsonga z’ebyokwerinda n’okusingira ddala mu bibuga ng’asinzira mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe mu kiro ekikeseza leero, agambye nti, abagala Entebbe balinde ekiseera ekituufu, basobole okwesimbawo.
Abamu ku bannayuganda abagala obuyinza kuliko Dr Kizza Besigye owa Forum for Democratic Change (FDC) era avuganyiza ku bwa Pulezidenti emirundi 4 kyoka kigambibwa nti mu 2021 n’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayinza okwesimbawo ku bwa Pulezidenti.