Kyaddaki Robert Kyagulanyi Ssentamu, omubaka we Kyadondo East mu Paalamenti asabye omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni okuteekawo embeera buli munnayuganda okumwebuzaako ku bigenda mu maaso mu ggwanga lyabwe.

Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine agambye nti Pulezidenti Museveni yasalawo okweyita jjajja era ateekeddwa okwaniriza abazzukulu n’okubalaga omukwano okusinga okuteekawo embeera ebanyigiriza.

Bobi bw’abadde eyogerako eri bannamawulire makaage mu bitundu bye Magere mu disitulikiti y’e Wakiso, agambye nti jjajja Yoweri Museveni ateekeddwa okuba eky’okulabirako ku ngeri gy’akulembeera egwanga lino, n’okuwa omukisa, abazzukulu okutegeeza ebigeenda mu maaso mu Gavumenti ye.

Mungeri y’emu avumiridde ebitongole ebikuuma eddembe okweyingiza mu byobufuzi nga benyigira mu kukuba abantu emiggo.

Bobi agamba nti ebitongole ebyo okuli Poliisi n’amaggye biteekeddwa kuwereza ggwanga lyona wabula ssi Pulezidenti Museveni yekka.