
Aba famire y’omugenzi Yasin Kawuma bazize ssente z’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni obukadde 20 ezatwaliddwa okuyamba okukyusa embeera zabwe omuli banamwandu okugulira abaana baabwe ebitabo ne School Fees basobole okubazaayo mu ssomero.

Kawuma yali dereeva wa Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, eyattibwa mu bitundu bya Arua nga 13, August, 2018, olw’obukambwe obwakoleddwa amaggye ne poliisi ku bawagizi ba Kasiano Wadri ku bigambibwa nti baakuba amayinja, emmotoka y’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni ndabirwamu neyiika.

Ssente zino zeetikiddwa omuyimbi Catherine Kusasira era agambye nti ye ng’omukyala omuzadde, yasabye omukulembeze w’eggwanga okuyamba banamwandu olw’embeera embi gye babaddemu.
Kusasira agamba nti ssente singa baaganira ddala okuzitwala, wakunoonya abetaaga obuyambi abalala omuli ne famire y’omugenzi Muhammad Kirumira.

Aba famire, bawagira ekisinde kya Bobi Wine ekya People Power, ekiraga nti bawakanya ebigenda mu maaso mu Gavumenti ya Pulezidenti Museveni.
https://www.youtube.com/watch?v=0XgsJTqn9z0