
Ssente z’omuyimbi Catherine Kusaasira z’agamba nti yazigye wa Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni zitabudde bannamwandu ba Yasini Kawuma eyali dereeva wa Bobi Wine ne ssezaala waabwe. Ba nnamwandu babadde tebaagala ssente zino obukadde 20 zikwasibwe ssezzaala wabwe Ssebabi Salamata.

Entabwe evudde ku taata Ssebabi okutegeeza nti abakyala b’abaana abamu tabamanyi era bateekeddwa okutwalibwa ku musaayi okwekebejjebwa endaga butonde (DNA) okuzuula abaana b’omugenzi Yasini Kawuma.

Embeera eyo, yaviriddeko abakyala okutandiika okukaaba nga bategeeza nti bbo ssezaala waabwe tebamwesiga ku nsonga ya ssente.
Taata yateekeddwako akazito era yawaliriziddwa buli Namwandu w’omugenzi Yasin eyabaddewo okumuwaako obukadde 2 ye nageenda n’obukadde 12.

Kigambibwa omugenzi Yasin yaleka abaana abasuuka 12 n’abakyala abasuuka 7.