Oluyimba lwa Fik Fameica olwa “Tonsukuma” lutandiise okukyamula byanabiwala mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Oluyimba olwo, luwambye emikolo, kirabu ne bbaala era abaana abateegera omuziki lubakolera nnyo.

Fik Fameica
Fik Fameica

Fik asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okusiima byanabiwala ebinyumirwa oluyimba lwe kuba buli ssaawa beyongera.

Oluyimba Tonsukuma lwa mukwano era abasinga okulweyambisa basajja abanoonya ababeezi nga beeyambisa oluyimba olwo okusaba abawala obutabasindikiriza okusobola okubategeeza ensonga zabwe.