
Emmere n’ebyokunywa bitabudde omuyimbi Jennifer Full Figure era akuddalidde muyimbi munne Catherine Kusasira okuwagira ebigendererwa bya Bobi Wine okusobola okulya ku mmere ewooma.
Full Figure agamba nti okuwagira Bobi, asobodde okulya buli kimu mu State House empya ate bagaba ne nyongeza ekiraga nti Pulezidenti wabwe abaagaliza.

“Munatusonyiwa twalwala obulwadde bwe bayita Bobi Wine, tukyabuliddwa eddagala okubajanjaba”, Full Figure anyonyodde.
Full Figure akowodde Kusasira okubegatako okusinga okusigala mu mbeera embi.