Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo ku bigambibwa nti abayimbi basukkiridde okweyingiza mu byobufuzi n’okusingira ddala okuwagira ekisinde kya People Power.

Kenzo agamba nti ssi munnabyabufuzi kyoka mukulembeze ateekeddwa okwetegereza ebigenda mu maaso mu ggwanga.

Mungeri y’emu agambye nti wadde ssi munnabyabufuzi kyoka Mukama yamuwa amaannyi okulembera abantu ng’omuyimbi era ateekeddwa okweyambisa eddoobozi lye, okulambika eggwanga.

Bobi Wine ne Kenzo
Bobi Wine ne Kenzo

Kenzo agamba nti abavubuka bangi bafudde okuva ku mulembe gwa Dr Kizza Besigye owa FDC nga kivudde ku bavubuka okwenyigira mu kwekalakaasa.

“Nze sirina muntu yenna gwe nwanyisa, Museveni, Besigye ne Bobi Wine bonna mikwano gyange era twagala mirembe nga tulina okulwanyisa ebikyamu ebiri mu Gavumenti ya NRM” Kenzo ayogedde.

Ku kigambo People Power, Kenzo agambye nti abantu bateekeddwa okweyambisa amaannyi gabwe okufuna kyebagala.

https://www.youtube.com/watch?v=IUcBgCfywSA