
Omuyimbi Catherine Kusasira atabukidde Minisita omubeezi ow’ebyettaka Persis Namuganza era amulangidde obufere n’obubbi.
Minisita Namuganza yalumbaganye Kusasira okweyingiza mirimu egitamukwatako n’ekigendererwa okwegula eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

“Lwaki walinze Bobi Wine okudda okuva mu America okuddukira eri famire y’omugenzi Yasin Kawuma, Kusasira totegeera byabufuzi bya Uganda era byokola bigendereddwamu kutabangula bantu eri omukulembeze w’eggwanga lino, wegendereze”, bwatyo Minisita Namuganza bwe yasobodde okulabula Kusasira.
Mu lungereza yagambye bwati “Why wait for Bobi Wine to return then visit Yasin’s family! Catherine Kusasira doesn’t understand the politics in the country and is just provoking the public against the president. Bobi Wine has been away for a month but you had to wait for him to visit the family the you also come running. Had he gone with Yasin’s grave to USA? Act wise“.
Kusasira agamba nti ebigambo bya Minisita Namuganza biraga nti y’omu ku bantu abavumaganya Gavumenti era Namuganza okumulumbagana kiraga nti alina omutima omubi.