
Abantu balina enjogera egamba nti “mu Uganda buli kimu kisoboka” era bangi ku bakungu ba Gavumenti batuukiriza enjogera eyo.
Olunnaku olw’eggulo mu Paalamenti, Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, Col. Charles Okello Egola agambye nti abajaasi abazze balabibwako ku ntimbe za Ttivi (TV) nga batimpula abantu emiggo ssi bannayuganda wabula ba Nigeria.

Bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka paalamenti akakola ku byokwerinda n’ensonga ez’omunda mu ggwanga Minisita Egola agambye nti beetegerezza ebifaananyi ebiragibwa ku ttivi za Uganda ne bakizuula nti bigattirirwa bugattirirwa kyokka ng’abaserikale abalimu ssi ba UPDF.
Mungeri y’emu agambye nti batandiise okunoonyereza abasirikale abatimpula abantu emiggo kuba tebamanyikiddwa mu ggwanga lino.
https://www.youtube.com/watch?v=5OkrW1AXjmI