
Kyaddaki Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda abikudde ekyama nti omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine yasimatuka okuttibwa mu bitundu bya Arua nga 13, August, 2018.
Gashumba agamba nti amasasi agaakubwa Yasin Kawuma gali gateekeddwa kukubwa Bobi Wine era Omutonzi yamutaasa.

“Bali bagala kutta Bobi Wine, Yes, they wanted to kill Bobi Wine, oyo omwana Bobi Wine aliko ne Katondo we” Gashumba bwatyo bwasobodde okulumiriza.

Kawuma yattibwa mu mmotoka ya Bobi Wine mu kibuga Arua nga 13, August, 2018, ebitongole ebikuuma eddembe omuli Poliisi n’amaggye webaali bagumbulula abantu ku bigambibwa nti bakuba emmotoka y’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni amayinja, endabirwamu neyiika.