
Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda agamba nti okugenda kwa Gen Mugisha Muntu okuva mu FDC, kabonero akalaga nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agenda kutukiriza ekigendererwa kye, eky’okuggyawo ebibiina byona ebivuganya mu ggwanga lino obutasukka 2021.
Gashumba agamba nti demokulasiya ali mu FDC nga Muntu awangudde kyoka olwawangulwa Patrick Oboi Amuriat n’asalawo okutandika okwebuuza.
Mungeri akuttidde abavubuka okujjumbira okwekolera kuba bannabyabufuzi omuli Dr Kizza Besigye, Gen Mugisha Muntu ne Bobi Wine tewali n’omu agenda kubateera mmere ku mmeeza kuba Bobi Wine asobodde okukola ennyo okwetusaako byeyetaaga.

Gashumba era akoowodde abantu okujjumbira okweyambisa ekigambo “People Power” kuba mu nsi yonna abantu balina okweyambisa eddoobozi lyabwe okukyusa obulamu.
Ku nsonga y’ababaka mu Paalamenti ku kaadi ya FDC, Gashumba agamba nti bonna babadde banene lwa FDC era bateekeddwa okukomya okugamba nti ekibiina tekibayambye.