
Kansala wa Kawempe North ku lukiiko lwa KCCA, Muhammad Ssegirinnya ‘Eddoboozi ly’e Kyebando atabukidde abantu abasobodde okweyambisa omutimbagano gwa yintaneeti omuli Face Book, Twitter okutegeeza bannayuganda nti afudde.

Ssegirinnya agamba nti abantu okumubika nti afudde kirabika kyakulembeddwamu omuyimbi Catherine Kusasira okusobola okuddayo eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okusaba amabugo.
Mungeri y’emu agambye nti ateekeddwa okunoonyereza lwaki yabikiddwa olunnaku olw’eggulo ku mikutu egyenjawulo.