
Omubaka wa Kyaddondo East era akulemberea ekisinde kya “people Power” Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine agambye nti mwetegefu okwaniriza n’okukolagana ne Mugisha Muntu n’abalala abaavudde mu kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC).
Bobi Wine bwabuziddwa oba ayinza okwesiga bannabbyabufuzi banno agambye nti bwe babaamu engeri yonna, ba kulabirwa ku bibala byabwe.

Mungeri y’emu agambye nti mu kiseera kino balina kwegata okulwana okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga okusinga okusika omuguwa wakati wabwe.
Ku nsonga eyo, munnamateeka wa Bobi Wine, Asuman Basalirwa agambye nti balina okwekeneenya abantu bonna abagala okwegata ku kisinde ekya People Power okusobola okwewala abantu abakyamu okubegatako.