
Paasita atabukidde bannayuganda abavuddeyo okuwagira Bobi Wine okuyambako okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga lino oba okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino.
Kigambibwa omusajja ali mu vidiyo avumirira Bobi Wine amanyikiddwa nga Grace Lubega kyoka tekimanyiddwa kkanisa gyakulembera.

Agamba nti omunywi w’enjaga tasobola kulembera ggwanga era buli muntu alina okuvaayo okulwanirira eggwanga nga balwanyisa abanywi b’enjaga mu ggwanga.
Mungeri y’emu agambye nti omuntu alemereddwa okukyusa obulamu bw’abantu mu Ghetto, tasobola kulembera ggwanga era abantu bateekeddwa okukomya okutunda eggwanga lyabwe.

Paasita mu lungereza agamba nti “Stop being emotional, you can’t get a drug addict to lead this Nation”, bwato bw’abadde alabula abagoberezi.