
Omuyimbi Cinderella Sanyu amanyikiddwa nga Cindy akakasiza nti alina omusajja wadde tanaba kumulangirira mu lujjudde.
Cindy agamba nti akyamwetegereza okukakasa oba ye mutuufu kuba abasajja banguwa okwekyusa ku nsonga z’omukwano.
Agamba nti wadde muyimbi, omusajja alina okumwagala nga ye kuba tayinza kukyuka mu by’okuyimba n’obufumbo.

Bwe yabadde mu 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu Big Bang, Cindy yagambye nti okwetegeera mu mukwano kwekusinga byona.
Ku nsonga z’omusajja gw’alina, Cindy akakasiza nti omusajja amutegeera bulungi era y’emu ku nsonga lwaki baagalana.