Omuyimbi Diamond Platnumz atendereza byana biwala mu ggwanga erya Tanzania nti birina ekitone era tewali ayinza ku bivuganya mu Africa.

Platnumz asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuwaana okuwala eyabadde mu buliri ng’azina oluyimba “Katika” nti y’omu ku bawala abalina ekitone.

Mungeri y’emu agambye nti singa wabaayo ayinza okuvuganya omuwala oyo, ateeke vidiyo ng’azina oluyimba lwe lumu “Katika” ku Instagram #KATIKA.

  Hamisa Mobeto ne Platnumz

Hamisa Mobeto ne Platnumz

Platnumz y’omu ku bayimbi mu Africa n’okusingira ddala mu ggwanga erya Tanzania abawambye ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ezenjawulo omuli Africa Beauty, Sikomi, Kidogo, Marry You, Salome n’endala.

Zari ne Platnumz
Zari ne Platnumz

Platnumz yali bba w’omukyala Zari Hassan era balina abaana wadde bafuna obutakaanya ne bawukana olwa bba (Platnumz) okwagala buli mukyala omuli ne Hamisa Mobeto gwe yazaalamu omwana.