
Omuyimbi King Saha okuyimba obulungi y’emu ku nsonga lwaki yawereddwa omukisa okwegata ne muyimbi munne Weasel Manizo okuyimba bombi.
Kigambibwa omugenzi Mowzey Radio yaleka ennyimba mpitirivu ze yali awandiise era Saha ne Weasel bagenda kuziyimba.

Mu kiseera kino baakafulumya oluyimba olwatumiddwa “Mpa Love” era lutandise okuwamba mu ggwanga lyonna.
Ku mukutu ogwa Instagram, mwana muwala alemeddeko, asabye omuyimbi King Saha okumuwa laavu.
Omuwala agamba nti yesuunga nnyo King Saha era agenda kulinya takisi okukima omukwano.
Abawala okuvaayo, kabonero akalaga nti oluyimba “Mpa Love” luwambye emitima gy’abantu.