Omu ku basajja abagambibwa okwenyigira mu kutta eyali DPC w’e Buyende Muhammad Kirumira ne Stellah Nalinya Mbabazi asimbiddwa mu kkooti ento e wakiso ne bamusomera emisango

Abubaker Kalungi myaka 47 nga mubazzi era mutuuze w’e Bulenga mu distulikiti ye Wakiso, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Martin Kirya ku misango gy’obutemu.

Omugenzi Muhammad Kirumira
Omugenzi Muhammad Kirumira

Kalungi yatuusiddwa mu kkooti ku ssaawa Musanvu ez’emisana olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna wakati mu bukuumi obwamanyi eri poliisi n’abasirikale abalala ababadde mu ngooye ezaaleeya.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Kalungi ne banne abakyaliira ku nsiko, nga 8th, September, 2018 mu bitundu bye Bulenga, bakuba amasasi, ASP Kirumira n’omukyala Nalinya, ekyavirako bombi okufa nga bakatuusibwa mu ddwaliro e Lubaga ne Mulago.

Kalungi ali ku musango gwa naggomola era teyakiriziddwa kwogera kigambo kyona, yasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kigo, okutuusa nga 19th, October, 2018, oludda oluwaabi okusobola okomekereza okunoonyereza.