Mu Uganda Sheebah Kalungi y’omu ku bakyala abasobodde okukola ennyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba.

Asobodde okukuba ennyimba mpitirivu nnyo ezimutunze mu bantu emyaka egigenda mukaaga (6) omuli Beera Nange, Mummy Yo, Muwe, Wankona, Tonzoleya, Sitani Tonkema, Nkwatako, Wadawa, Nze Wuwo, Wantama, Twesana n’endala.

Wabula abamu ku bannansi omuli n’abakulu mu Gavumenti omuli Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa, Fr. Simon Lokodo bagamba nti Sheebah y’omu ku bayimbi abasukkiridde okusasaanya obuseegu olw’enyambala kyoka buli lunnaku obuwagizi bwe bweyongera.

Mu kiseera kino alina oluyimba olumanyiddwa nga “Wankona” oluwambye eggwanga lyona.

Yabadde mu Kampala mu kirabu kyoka oluyimba olwo (Wankona) lwawadde abadigize enseko.