Oluyimba lwa Eddy Kenzo lwa Body Language lutandiise okuwamba mu ggwanga lyona n’okusingira ddala mu byanabiwala ebyamyuka.

Ku mukutu gwa Kenzo ku Instagram, abantu bangi bamulaze nti oluyimba lubakolera era bangi balwagadde nga bwe gwali ku luyimba lwa Sitya Loss.

Kenzo asobodde okuteekayo abantu abenjawulo nga bazina oluyimba olwo mu ngeri zabwe okuva mawanga agenjawulo omuli Uganda, Malawi, Kenya n’amalala.

Mu Uganda, Kenzo yekka ye muyimbi alina engule ya BET era y’omu ku bayimbi abasinze okutunda eggwanga mu nsi yonna olwa talenti y’okuyimba.

Ku Instagram, bamu ku bawagizi ba Kenzo, bamwambalidde nti byanabiwala bigendereddwamu okumuggya ku mulamwa okwerabira mukyala we era maama w’abaana Rema Namakula.

https://www.instagram.com/p/BojiONnH95Z/?taken-by=eddykenzo

 

https://www.instagram.com/p/Bobmq67HFJn/?taken-by=eddykenzo

https://www.instagram.com/p/BoiusW-n9nm/?taken-by=eddykenzo

https://www.instagram.com/p/Bob2HKrH8ue/?taken-by=eddykenzo