Omuyimbi Sanyu Cindy ayugumizza abadigize mu Eastern Megafest kyoka alemeseza abasajja bonna okumukwatako.

Cindy olw’ennyimba ze ezinyumira abantu omuli Onnina, Run this City, Whine Yo Waist n’endala n’okukyamula abantu ku siteegi, y’emu ku nsonga lwaki ayitibwa okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okusinga ku bayimbi abalala.

Mu kivvulu, yasobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo ezawadde abadigize essanyu kyoka bangi ku basajja bawuliddwako nga bagamba “otwambalidde tuweko tukwateko”.

Cindy era afulumiza Pulogulamu okuyimbira abantu mu bifo ebyenjawulo

25th October -Torino bar and restaurant

26th October -Fusion auto spa

27th October -Club Explorer Soroti