
EKitongole ekikuuma eddembe eky’amaggye kitandiise okunoonyereza kubigambibwa nti waliwo munnabwe alabikira mu katambi ng’atulugunya omusajja.
Mu katambi Munnamaggye atamanyiddwa mannya yali atulugunya omusajja era kigambibwa nti yali muwagizi wa Bobi Wine mu kisinde ekya People Power.
Omusajja bamubuuza lwaki awagira Bobi Wine, ssente bagigyawa ye lwaki batabangula ggwanga wakati mu kumutulugunya.

Wabula amyuka omwogezi w’amaggye Deo Akiiki agambye nti batandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.
Mungeri y’emu ateebereza nti wandibanga waliwo abantu abakyamu abafuna ekyambalo ky’amaggye n’ekigendererwa okuvumaganya UPDF.