Omuyiggo gukyagenda mu maaso mu bitundu bye Buduuda, okunoonya abantu abafudde olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna oluvanyuma lw’omugga Suume okubooga, amazzi ne gawaguza.

Abakoseddwa bali mu ggoombolola 4 okuli Bukalasi, Buwali, Nalwanga, ne Bubiida, mu kiseera emirambo 35 gye gyakazuulibwa, abantu abasukka 400 bakyabuze ku byalo ebyenjawulo omuli Suume, Malila, Lwanda, Nanyinza n’ebirala.

Okuyikuula ettaka kukyagenda mu maaso, abatuuze nga bayambibwako aba Red Cross okuzuula abantu abakyabuze.

Amazzi gasudde amassomero, amayumba g’abatuuze n’okusanyawo amasamba g’enimiro n’ebintu ebirala.

Wabula Gavumenti esobodde okusindiika ebintu ebyenjawulo okuyamba abantu abakoseddwa nga emmere omuli akawunga n’ebijanjalo, ebidomola, bulanketi, amasowaani n’ebintu ebirala.

Ssaabaminisita wa Uganda Dr Ruhakana Rugunda asabye abantu bonna okuvaayo okuyamba abantu abakoseddwa mu bitundu bye Buduuda kuba betaaga obuyambi.