Minisitule y’ebyensimbi etegezeza nga bwetandise okunoonya obuwumbi 700 obugenda okuwebwa akakiiko k’ebyokulonda okutegeka akalulu ka 2021.

Okusinzira ku Minisita omubeezi ow’Ebyensimbi, David Bahati, ssente bagenda kuzinoonya mu bitundutundu buli omwaka, okutuusa 2021 nga bafunye ssente ezimala okutekateeka okulonda okulungi.

David Bahati
David Bahati

Wabula ensonda enekusifu mu kakiiko k’ebyokulonda zitutegezeza ng’omuwendo guno bwegusubirwa okulinya okutuuka ku buwumbi obusoba mu lukumu.

Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Talemwa akakasiza nti emiwendo gy’ebintu okulinya kyekiviiridde ensimbi ezetagisa okweyongera.

Wabula abamu ku babaka ba Palamenti bagamba nti ssente ezisabiddwa akakiiko k’ebyokulonda zisukkiridde obungi.