Abakulira ekisaawe kye Namboole bakiriza omuyimbi Bobi Wine era omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu, okutekateeka ekivvulu ky’oluyimba “Kyarenga” mu kisaawe lye Namboole nga 9, November, 2018.

Okusinzira ku nteeseganya wakati w’abakulira ekisaawe kye Namboole n’abakuliddemu okutekateeka ekivvulu aba Emma Promotions and Marketing Agency, olunnaku olw’enkya nga 20, October, 2018 ekivvulu tekigenda kubaayo wadde bakiranga kyoka nga 9, November, 2018, Namboole eweereddwayo eri Bobi, okutekateeka ekivvulu kye.

Bobi Wine
Bobi Wine

Mungeri y’emu, abategesi bateekeddwako obukwakulizo obwenjawulo nga bateekeddwa okusasula ssente obukadde 32, okakasa nti Namboole bagyetaaga obutasuuka 29, October, 2018.

Mungeri y’emu balagiddwa nti amangu ddala nga ekivvulu kiwedde, bateekeddwa okulongosa ekisaawe kye Namboole, Uganda okusobola okweteekerateekera omupiira mu wiiki eddako nga 16, November, 2018 mwegenda okukyaliza Cape Verde mu kusunsulamu abalisamba mu mpaka za AFCON omwaka 2019 mu ggwanga erya Cameroon.

Ku nsonga eyo, amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Patrick Onyango agambye nti Poliisi yakuvaayo n’ekiwandiiko ku nsonga y’ekivvulu amangu ddala ng’abakulira Namboole bakakasiza nti Bobi Wine yakiriziddwa okutekateeka ekivvulu kye.