
Abasajja bataano (5) abaalabikidde mu katambi nga batulugunya munna Uganda Young Democratic (UYD) Yusuf Kawooya amaggye gategeezezza nga bwebakwatiddwa bonna.
Abasajja okuva mu kitongole ky’amaggye ekitamanyiddwa, basimbiddwa mu kkooti y’amaggye e Mbuya mu kakiiko akwasisa empisa ku lunnaku Olwokutaano era baguddwako emisango egyenjawulo omuli okutulugunya omuntu, okukwata omuntu mu ngeri emennya amateeka n’okulemwa okugoberera amateeka.
Ssentebe w’akakiiko Col.Tom Kabuye yeyakulembeddemu okusomera abasirikale abo emisango era bonna bakirizza emisango kyoka ne basaba ekibonerezo ekisamusaamu.

Abasirikale abakwattiddwa baali mu ngoye eza bulijjo nga bakutte emmundu ne bataayizza Kawooya okuliraana Klezia ya Christ the King mu Kampala wakati ne bakozesa amaanyi agasukkiridde nga bamukwata.
Abasirikale batandikirawo okumukuba nga bwe bamuvuma ebigambo ebizito. Omusirikale eyali mu ssaati ey’ebikuubo ebya kiragala yatandise okukuba Kawooya ebigala by’emmundu mu mugongo ne mu mbiriizi.
Yakimusozze emirundi ebiri era Kawooya amaanyi ne gamuggwaamu. Bamuyingizza mu mmotoka ekika kya Takisi kamunye UAF 325S nga bamukuba era bw’alaajana.