
Oluyimba Tonsukuma olwa Fik Fameika lutandiise okuwamba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’okusingira ddala mu byanabiwala.
Ku kirabu ezenjawulo, oluyimba olwo, abantu bangi nnyo okusinga abasajja balweyambisa okuzina omunyigo n’abawala nti Tonsukuma.
Fik asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instgram okulaga abantu abenjawulo engeri gye banyumirwa oluyimba olwo.

Abamu kwabo mwe muli omuwala omunene kyoka wadde alaga nti munene, asobodde okuzina oluyimba Tonsukuma, ng’akyusa bulungi ekiwato ate ng’ali mu ssannyu, ekiwadde Fik ebugumu nti oluyimba lwe, abantu bangi balwagala.
Mu Uganda, kimanyiddwa nti Sheilah Gashumba y’omu ku bawala abanyumirwa ennyo ennyimba za Fik kyoka omuwala asobodde okuzina, Fik neyerabila Sheilah.
https://www.instagram.com/p/BpIgpVGBFlB/?taken-by=iamfikfameica