Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine abikudde ekyama nti butali bwenkanya mu ggwanga lino y’emu ku nsonga lwaki bangi bavuddeyo, okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga lino Uganda.

Bobi Wine agamba nti abantu bangi nnyo banyigirizibwa omuli abawereza mu Gavumenti n’oludda oluvuganya kyoka bangi batya okwogera olw’okutya ebisangosango ebiyinza okubagulwako.

Mungeri y’emu Bobi Wine agambye nti bannansi abalwanirira eggwanga lyabwe, bateekeddwa okuvaayo, okulemberamu enkyukakyuka.

Bobi Wine bw’abadde asisinkanyeko abalonzi mu makaage mu bitundu bye Magere, agambye nti alina okukola ennyo bannayuganda okusobola okweyagalira mu ggwanga lyabwe kuba bakooye obutali bwenkanya mu ggwanga lyabwe.

https://www.youtube.com/watch?v=mRIOA1FAOwM