
Omubaka wa Munisipaali y’e Mityana Francis Zaake aweze okukuba mu mbuga z’amateeka abajaasi ba SFC baalumiriza nti abamanyi bulungi nti bebamutulugunya katono bamutte oluvanyuma lw’’okukwatibwa mu Arua nga 13, August, 2018.
Bino Zaake abyogeredde mu lukungaaana lw’abannamawulire lwatuuzizza mu makaage e Kampala era n’awera okuvunaana abasawo mu ddwaliro ly’e Kiruddu balumiriza okumukebera nga takkirizza.
Zaake agamba nti abasirikale aba SFC baamukuba empi, ensambagere n’ebikonde nga teri afaayo era bonna bali balina ebyambe ku mmundu zabwe ne bamusala engalo, okumusiba akandoya ne bamukubaKuba ku mugondo, ekivirako obuvune.

Mungeri y’emu agambye nti abasirikale ba SFC abamutulugunya abajjukira bulungi nnyo kuba balina amannya ku byambalo byabwe by’amagye, ffeesi zabwe n’enamba era bonna agenda kubatwala mu kkooti.
Wabula omwogezi w’amaggye ga SFC Captain Jimmy Omara agamba Zaake ebyokwogera mu mawulire ssibyakumuyamba kubanga ali ku bulimba bwenyini.
Amulabudde okweyambisa amakubo amatuufu okusinga okudda mu maaso ga kamera.