
Kyaddaki Omuyimbi Tonny Mbangira amanyikiddwa nga Latinum ayogedde emyaka gy’alina mu kiseera kino.
Latinum bwe yabadde ku 100.2 Galaxy FM mu pulogulamu Big Bang ategekebwa 100.2 Galaxy FM buli Lwakutaano olusembayo mu mwezi, yagambye nti alina emyaka 21 ekiraga nti yazaalibwa mu 1997.
Ku myaka gye 21, amanyikiddwa mu Uganda ng’omu ku bayimbi abato olw’ennyimba ze omuli Baabo, Man Away, Some Mi Want, We Deya, Amanya Gange, Ova Kampala n’endala.
Mungeri y’emu yasobodde okulaga nti akuze mu myaka era omuyimbi Pia Pounds okuva mu kibiina kya Big Talent y’omu ku bakyala bayagala.
Latinum wadde yabadde mu situdiyo, yasobodde okulaga Pia Pounds nti musajja mulungi asobola okumatiza omukyala yenna mu mukwano.