Kyaddaki omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, alangiridde nti Konsati y’oluyimba Kyarenga etwaliddwa ku One Love Beach e Busabbala nga 10, November, 2018.

Okusinzira ku Bobi, basobodde okutegeeza Poliisi era tebasuubira muntu yenna kubatataaganya.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire e Kamwokya enkya ya leero, Bobi agambye nti ebyokwerinda bikoleddwako era agumizza abawagizi be ku nsonga eyo.

Kinnajjukirwa, ekivvulu ky’oluyimba Kyarenga, kiyimiriziddwa emirundi ebbiri, okuli nga 20, October, ne 9, November, 2018.