
Abatuuze ku kyalo Najjemba mu ggoombolola y’e Gombe mu Disitulikiti y’e Wakiso bakutte abaagalana abasangiddwa nga basinda omukwano mu kifo eky’olukale emisana ttuku.
Omukyala Phiona Nabisubi ng’akola bwa yaaya asangiddwa ne muganzi we Kizza Sembatya omuvuzi wa bodaboda nga basinda omukwano nga bali wansi w’omuti ku meeza we bazannyira luddo.
Nabisubi ne munne basangiddwa banaabwe ababadde bazze okuzannya Ludo, abasobodde okuyita abatuuze abalala.
Abaagalana batwaliddwa mu kakiiko k’ekyalo era kkooti y’ekyalo ebasalidde ekibonerezo buli omu okukubwa kibooko 20 mu lujjude.
Abamu ku batuuze bavumiridde ekikolwa abaagalana abo okuwebuula ekitiibwa kyabwe ate abamu bagambye nti okubulwa ssente okugenda mu loogi y’emu ku nsonga lwaki bakoze webatyo.
https://www.youtube.com/watch?v=1U53H9rV58A