Omutunulizi w’Ensonga mu byobufuzi Dr A A Kaliisa abikudde ekyama nti Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, atandiise okukola ebyo, ebiyinza okumutwala mu bukulembeze bw’eggwanga lino.

Kaliisa yabadde ku NBS mu pulogulamu Ensi Nebyayo olunnaku olw’eggulo ku Ssande okuwagira Bobi Wine nti asemberedde okukwata obuyinza singa asigala ku mulamwa.

Bobi Wine
Bobi Wine

Agamba nti Bobi Wine okugenda e Buduuda okutwala ebintu ebyenjawulo omuli emmere mu bantu abakoseddwa olw’ettaka okubumbulukuka, kabonero akalaga nti atandiise okufuuka “A statesman” era omutuufu okukwata obuyinza.

Dr Kaliisa agamba nti Bobi Wine sabiti ewedde ayitiridde mu byobufuzi era singa alemera ku nsonga, ayinza okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.