
Kyaddaki omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyikiddwa nga Bobi Wine, alayidde okufira ku mazima n’okulwanirira abantu babuligyo..
Sabiti ewedde, waliwo abantu abatanakwatibwa, abasasaanya ebibaluwa nga biteekeddwako amannya g’abantu 16 abagenda okuttibwa, omuli Kattikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, Jjajja w’Obusiraamu mu ggwanga Omulangira Kassim Nakibinge, Minisita wa Kampala Beti Kamya, ababaka ba Palamenti okuli MP Gerald Karuhanga owe Ntungami, Mubarak Munyagwa owe Kawempe South, Bobi Wine owe Kyadondo East.

Abalala kuliko Rubaga North MP Moses Kasibante, Amyuka omwogezi wa Poliisi Patrick Onyango, Siraj Bakaleke eyali adduumira Poliisi mu Kampala South, amyuka Mufuti e Kibuli Sheikh Mahmudu Kibaate n’abalala.
Wabula Bobi agambye nti wadde yandyagadde okukuza abaana n’okuwangala okulaba ku bazzukulu, tayinza kutya eri abatemu, abagala okumutta kuba alemedde ku nsonga ate tagenda kuzivaako.