
Omuyimbi Sheebah Kalungi abikudde ekyama lwaki yategese konsati era lwaki yatwaliddwa ku Hotero Africana mu Kampala nga 30, November, 2018.
Sheebah y’omu ku bakyala abasobodde okukola ennyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Mummy Yo, Beera Nange, Akkuse, Muwe, Tonzoleya, Nkwatako, Binkolera, Try My Love, Akusse n’endala kyoka yalangiridde konsati y’oluyimba lwe Omwooyo.
Sheebah bwabuziddwa lwaki konsati yatwaliddwa ku Africana agambye nti ebyokwerinda ebirungi n’okukuuma abawagizi be y’emu ku nsonga lwaki konsati yatwaliddwa ku Africana.

“Wadde njagala nnyo ssente naye ate njagala nnyo obulamu bw’abantu era y’emu ku nsonga lwaki nalonda Africana era tugenda kukola nnyo okunyweza ebyokwerinda era salowooza ku namba y’abantu wabula ebyokwerinda”, Sheebah ayogedde.
Ku nsonga ya Sheebah okuyimba ennyimba za Laavu, agambye nti abantu bagala nnyo laavu ate naye agitegeera era y’emu ku nsonga lwaki agikulembeza nnyo.
Sheebah agamba nti laavu esobola okuva mu bantu abenjawulo omuli maama, taata, mukwano gwo oba omuntu omulala yenna.
https://www.youtube.com/watch?v=SEBFDriHJ_o