Ssaabavvulu Balaam Baruhagare alangiridde nti Bebe Cool alina okuyimba mu bivvulu bye byona era abatamwagala mwesonyiwe ebivvulu bye.

Balaam agamba nti abantu balina okukula mu byobufuzi nga buli muntu waddembe okuwagira ekibiina kyona oba omuntu yenna kuba tuli mu nkola ya demokulasiya.

“Nze ndi mukwano gwa Bobi Wine ng’omuyimbi era mpa abakulembeze abalonde ekitiibwa omuli Dr Kizza Besigye, omuloodi Ssalongo Erias Lukwago n’abalala era bonna tebanvumangako. Ebyobufuzi olina okulondako” Balaam ayogedde.

Baalam agamba nti kyabuswavu omuntu yenna okukuba Bebe Cool obucupa kuba buli muyimbi alina abawagizi be era alabudde abawagizi bonna abasuubira okkola efujjo okwesonyiwa ebivvulu bye kuba Bebe Cool alina okuyimba era agenda kumulanga mu bivvulu byonna.

Kinnajjukirwa ekivvulu ekyali ku Cricket Oval e Lugogo mu kivvulu ky’Omujamaica Tarrus Rairry mu August, 2018, Bebe Cool yakubwa obucupa era kiteberezebwa nti abantu abawagira ekisinde kya People Power ekikulemberwa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bebamukuba ne bamulemesa okuyimba kyoka Poliisi teyakwata muntu yenna, ekiwaliriza Balaam okuddamu okulabula.